Isaiah 45:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkola ekitangaala ne ntonda n'enzikiza; nze nkola emirembe, ne ntonda obubenje. Nze, Mukama, akola bino byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze nteekawo ekitangaala ne ntonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze nnassaawo omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nteekawo ekitangaala era Nze ntonda ekizikiza. Nze ndeeta emirembe, Nze ntondawo akabi. Nze Mukama, Nze nkola ebyo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze mmumba omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna.