Isaiah 45:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zimusanze oyo ayombesa Eyamukola, oyo ensuwa obusuwa mu nsuwa eziri ku ttaka! Ebbumba ligamba omubumbi nti: ‘Okola ki? Ky'okoze tekuli mikono?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we! Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi. Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, ‘Obumba ki?’ Oba omulimu gwo okukubuuza nti, ‘Aliko emikono?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zisanze oyo awakana n'Omukozi we! oluggyo mu ngyo ez'ensi! Ebbumba lirigamba oyo alibumba nti Okola ki? Oba omulimu gwo guligamba nti, “ Talina ngalo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zimusanze oyo awakanya Eyamutonda kubanga aba ng'ekibumbe ekiwakanya akibumbye. Ebbumba liyinza okubuuza alibumba nti: “Obumba ki?” Oba ekyo ky'okoze kiyinza okukugamba nti: “Tokozesezza magezi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zisanze oyo awakana n'Omukozi we! olugyo mu ngyo ez'ensi! Ebbumba lirigamba oyo alibumba nti Okola ki? oba omulimu gwo guligamba nti Talina ngalo?