Isaiah 46:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beli abunduse, Nebo akootakoota, ebifaananyi byabwe ebya balubaale byetikkiddwa nsolo na nte; bye mwatwalanga eno n'eri bizitowa, mugugu ku nsolo ekooye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beri avunnama, Nebo akutamye! Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte. Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beeri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi byabwe biri ku nsolo ez'omu nsiko, ne ku nte; ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, bizito ku nsolo ezikooye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Balubaale b'e Babilooni kati bukomye obwabwe! Beeli avuunama, Neebo akutamya omutwe wansi. Batikkiddwa ku ndogoyi ne ku nte. Ebifaananyi byabwe ebisinzibwa bifuuse migugu ku migongo gy'ensolo ezikooye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye.