Isaiah 46:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyisa enkomerero okuviira ddala mu masooka; okuva ddi na ddi nnangirira ebitannaba na kutuuka, ne ŋŋamba nti: Bye nteesa bya kubaawo, na buli kye njagala nzija kukituukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu kutandika, nnanga nga bukyali ebiribaawo ku nkomerero. Okuviira ddala mu kiseera eky'edda, ndaga ebitannaba na kukolebwa, nga nkakasa nti bye ntegeka tebirirema kutuukirira, era nti ndikola byonna bye njagala okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna: