Isaiah 46:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu buvanjuba mpitayo ennyonyi enkwakkuzi, n'okuva mu nsi ez'ewala, omusajja ow'enteesa yange. Kye njogedde, ekyo nzija kukituukiriza; kye ntesezza, ekyo nzija kukikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ayita ennyonyi ey'amaddu okuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, n'ayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; n'ateesa, n'okukola ndikikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpita omusajja okuva mu nsi ey'ewala. Aliwanuka okuva ebuvanjuba ng'ali ng'ekinyonyi ekiyizzi, n'ajja akola kye njagala. Mazima nkyogedde era ndikituukiriza, n'ekyo kye nateesa, ndikikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ayita ennyonyi ey'amaddu akuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, nayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n'okukola ndikikola.