Isaiah 46:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muntegere okutu, mmwe ab'omutima omukakanyavu, mmwe abeesambye obutuukirivu:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwulirize kye ŋŋamba mmwe ab'emitima emikakanyavu, abalowooza nti obuwanguzi buli wala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu: