Isaiah 46:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obutuukirivu bwange mbusembezza, tebuli wala; n'okulokola kwange tekujja kulwa; Obulokofu bwange nzija kubussa mu Siyoni, n'ekitiibwa kyange mu Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, tebuli wala. N’obulokozi bwange tebuulwewo. Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala, n'obulokozi bwange tebulirwawo; era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsembeza olunaku olw'obuwanguzi, terujja kuba wala. Sirirwawo kulokola bantu bange. Ndiwonya Siyooni abalabe, ne mba waakitiibwa mu Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala n'obulokozi bwange tebulirwawo era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.