Isaiah 46:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bibunduka ne bikootakoota; tebikyasobola kuwonya mugugu; anti bennyini bagenda mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bikutamye byonna bivuunamye. Tebiyinza kuyamba ku mbeera, byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifaananyi ebyo bikutama, ne bivuunamira wamu. Tebiyinza kuyamba baabikola, naye nabyo byennyini bitwalibwa nga bisibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.