Isaiah 46:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mumpulirize, mmwe ennyumba ya Yakobo, mwenna abaasigalawo mu nnyumba ya Yisirayeli, mmwe mbaweese okuva lwe mwagwa munda, mbasitudde okuva lwe mwazaalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumpulire, ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga okuva lwe mwazaalibwa, be nnasitulanga mu lubuto;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwulire kye ŋŋamba, mmwe ab'ennyumba ya Yakobo, mwenna abasigaddewo ku Bayisirayeli, be nasitulanga ne mpeeka okuva lwe mwazaalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumpulire ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga nze okuva mu lubuto, be nnasitulanga okuva munda: