Isaiah 46:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliwo abafukumula zaabu okuva mu nsawo zaabwe, ne bapima ffeeza ku minzaani; bagenda ew'omufukusi wa zaabu abakolere lubaale; olwo nga bavunnama, nga bamusinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, ne basinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu kye babeeredde bafukumula ensawo zaabwe ne baggyamu zaabu era ne bapima ffeeza mu minzaani ne basasula omuweesi wa zaabu, n'aweesa lubaale mu zaabu oyo ne bavuunamira lubaale oyo, ddala ne bamusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza.