Isaiah 46:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifaananyi bakisitulira ku bibegabega byabwe ne bakyetikka; bakissa mu kifo kyakyo, ne kiyimirira awo; tekiyinza kuva mu kifo ekyo, oli ne bw'akikoowoola atya, tekiyinza kwanukula, tekiriyinza kumuwonya mu nnaku ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga. N’ayimirira awo, n’atava mu kifo kye. Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye tayinza kuvaawo; weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamukongojja ku bibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye mw'atayinza kweggya. Bwe wabaawo ajja n'amukaabirira, lubaale oyo tayinza kumwanukula, wadde okumuwonya mu nnaku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye talisegukawo: weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze.