Isaiah 47:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kka wansi, tuula mu nfuufu, ggwe embeerera, muwala wa Babiloni; tuula ku ttaka, si ku nnamulondo, ggwe muwala w'Abakaludeya. Tokyaddayo kuyitibwa kijuujulu, kabirinnage.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuwala wa Babulooni embeerera, kakkana wansi otuule mu nfuufu, tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w’Abakaludaaya. Ekibuga ekitawangulwangako. Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Serengeta otuule mu nfuufu, ggwe omuwala wa Babbulooni, embeerera; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya! kubanga tebaliddayo kukuyita nyanyali era mwekanasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Wanuka ku ntebe y'obwakabaka, otuule wansi mu nfuufu, ggwe Babilooni, ekibuga ky'Abakaludaaya! Wabeerako ng'omuwala embeerera: ekibuga ekitawangulwa. Naye abakulaba tebaliddamu kukutenda bunyirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Serengeta otuule mu nfuufu ggwe omuwala wa Babulooni atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi.