Isaiah 47:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weetuulidde ntende mu bugwenyufu bwo, n'ogamba nti: “Tewali andaba.” Amagezi n'entegeera yo bikuwubisizza, n'ogamba mu mutima nti: “Nze ndiwo; okuggyako nze teri mulala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weesiga obutali butuukirivu bwo, n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya, bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti, “Siriiko andaba;” amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza; n'oyogera mu mutima gwo nti, “ Nze ndiwo, tewali mulala wabula nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Weesigula ebibi by'okola era n'olowooza nti tewali akulaba. Amagezi go n'okumanya kwo bikuwubisa, n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo, teri mulala, wabula nze!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza: n'oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze.