Isaiah 47:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno akabi kajja kukujjira k'otolisobola kwerogako; akabenje kajja kukugwira k'otolisobola kuweera mutango; ennaku gy'otomanyiridde erikuzinduukiriza
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ensasagge erikujjira era tolimanya ngeri yakugyeggyako; n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi; akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya ngeri yakubweggyako, akabi kalikugwako; toliyinza kukaggyawo, okuzikirira kuli kugwako mangu ago nga totegedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olituukibwako akabi nga tomanyi gye kavudde. Oligwibwako emitawaana gy'otoyinza kuziyiza, era olituuka okuzikirira, nga tomanyiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n'akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n'okuzika kulikujjako mangu ago kw'otomanyiridde.