Isaiah 47:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bali ng'essubi, omuliro gulibasenkenya; tebaasobola kwewonya maanyi ga muliro. Gano si manda bwanda ga kubugumya, si muliro buliro gwa kwota.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, bali ng’ebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogw’okwota!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro; teguliba lyanda lya kwota, newakubadde ekyoto eky'okutuulako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abo nno, baliba ng'ebisusunku, era omuliro gulibookya. Tebaliwona kibabu kya nnimi zaagwo. Teguliba nga gwa manda, gwe batuula awo ne boota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro: teguliba lyanda lya kwota, newakubadde kyoto eky'okutuulako.