Isaiah 47:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo kyokka kye basobola okukukolera abo be wateganiranga n'okusuubulagana nabo okuva obuvubuka bwo; buli omu amala gagenda kkubo lye, tewali alikulokola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; b’obonyeebonye nabo b’oteganidde okuva mu buto bwo. Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye era tewali n’omu ayinza okukulokola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga; abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo bwe baliba abo be watawaananga nabo, be wasuubulagananga nabo okuva mu buto bwo. Bonna balyekwatira gaabwe, ne wabulawo akuyamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.