Isaiah 47:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wagamba nti: “Ŋŋenda kubeera nnaabakyala emirembe gyonna.” Naye bino tewabissaako mutima, tewalowooza ku kinaabivaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayogera nti, ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’ naye n’otolowooza ku bintu bino wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oyogera nti, “N'abanga mukyala ennaku zonna,” ebyo n'otobissa ku mwoyo wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wagamba nti: ‘Ndiba Nnaabakyala ennaku zonna,’ bino n'otobissaako mwoyo, era n'oteebuuza gye biriggweera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n'otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma.