Isaiah 47:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno wulira kino, ggwe omwagazi w'amasanyu, ggwe eyeetuulidde entende, ng'ogamba mu mutima gwo nti: “Nze ndiwo, era okuggyako nze teri mulala; siribeerako nnamwandu, yadde okumanya eby'okufiirwa abaana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno kaakano wuliriza kino, ggwe awoomerwa amasanyu ggwe ateredde mu mirembe gyo, ng’oyogera mu mutima gwo nti, ‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze. Siribeera nnamwandu wadde okufiirwa abaana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano wulira kino, ggwe awoomerwa amasanyu, ggwe ateredde mu mirembe gyo, ayogera mu mutima gwo, nti, “Nze ndiwo so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, oba okufiirwa abaana;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano wulira kino ggwe omwagazi w'amasanyu, atuula n'osalako n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo, teri mulala wabula nze. Nze siriba nnamwandu, era sirimanya kya kufiirwa baana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng'osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana: