Isaiah 47:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo byombi bijja kukujjira mu kabanga bubanga, ku lunaku lumu: okufiirwa abaana n'obwannamwandu; birikujjira mu bujjuvu, newandibadde ng'abalaguzi bo bangi, nga n'abalogo bo ba maanyi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu, eky’okufiirwa abaana n’okufuuka nnamwandu. Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu, newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira, n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana n'obwannamwandu, birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mbagirawo, bino byombi birikujjira ku lunaku lumu: okufiirwa abaana n'obwannamwandu, wadde obulogo bwo nga bungi butya n'obusawo bwo bwa maanyi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi.