Isaiah 48:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muwulirize kino, ggwe ennyumba ya Yakobo, mmwe abayitibwa erinnya Yisirayeli, mmwe omusaayi gwa Yuda, abalayira mu linnya ly'Omukama, abakoowoola Katonda wa Yisirayeli__ sso si mu mazima, yadde mu butuukirivu__
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abayitibwa erinnya lya Isirayiri, era abaava mu nda ya Yuda. Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isirayiri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abaava munda ya Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire kino mmwe ab'ennyumba ya Yakobo, abayitibwa Abayisirayeli, era abasibuka mu Yuda, mmwe abalayira erinnya lya Mukama era aboogera ku Katonda wa Yisirayeli, sso nga si mu mazima na mu bwesimbu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abavudde mu mazzi ga Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era aboogera ku Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima so si mu butuukirivu.