Isaiah 48:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gwange gwe gwabangawo ensi, ddyo wange ye yabamba olubaale; bwe mbiyita, byonna biyimirira lumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi, n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu; bwe mbiyita byombi bijja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Nzennyini, mwene, Nze nateekawo omusingi gw'ensi, era Nze nabamba eggulu, nga nkozesa buyinza bwange. Ensi n'eggulu bwe mbiyita, bijja okunneeyanjulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi, n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu: bwe mbiyita ne biyimirira wamu.