Isaiah 48:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukuŋŋaane mwenna, muwulire. Ku abo ani yali alanze ebintu bino? Omukama amwagala; alituukiriza entegeka ye ku Babiloni; omukono gwe gulirwanyisa Abakaludeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwekuŋŋaanye mwenna mujje muwulire! Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino? Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni, era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala; alikola Babbulooni by'ayagala, n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukuŋŋaanire wamu mmwe mwenna, muwulire. Mu balubaale bonna, ani yalanga ebyo nga tebinnabaawo? Nze Mukama nnonze omuntu gwe njagala. Oyo alirumba Babilooni n'akikolako nga bwe njagala, n'akuba Abakaludaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala: alikola Babulooni by'ayagala, n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya.