Isaiah 48:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Musembere kumpi we ndi, muwulire kino: okuviira ddala mu masooka soogeranga nammwe mu kyama; lwe kyakolebwa, naliwo.” Kale nno Omukama antumye, wamu ne Mwoyo we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Munsemberere muwulirize bino. “Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama. Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.” Era kaakano Mukama Ayinzabyonna n’Omwoyo we antumye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye ssoogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi; era kaakano Mukama Katonda antumye n'Omwoyo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Musembere we ndi muwulire kino. Okuviira ddala mu kusooka n'okutuusa kati soogereranga mu kyama. Bye njogedde bituusa ekiseera ne bibaawo.” Era kaakano Mukama Afugabyonna antumye era atumye ne Mwoyo we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n'omwoyo gwe.