Isaiah 48:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli: “Nze Mukama Katonda wo, nze nkuyigiriza ebinaakugasa, akukulembera mu kkubo mwe wanditambulidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Nze Mukama Katonda wo akuyigiriza okukulaakulana, akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wo, akuyigiriza eby'okukugasa, era akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.