Isaiah 48:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, abazzukulu bo bandibadde ng'obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandikutuddwako, yadde okusangulibwawo mu maaso gange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu abaana bo ng’obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandivuddewo wadde okuzikirira nga wendi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo; erinnya lyabwe teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ezzadde lyo bandibadde bangi ng'omusenyu, abatabalika ng'empeke zaagwo. Era nandirabye nga tebazikirira kuggwaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo: erinnya lye teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange.