Isaiah 48:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mmwe abeeyita ekibuga ekitukuvu, abanyweredde ku Katonda wa Yisirayeli; erinnya lye ye Mukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Isirayiri, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow'eggye lye linnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mweyita ba mu Kibuga Ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow'eggye lye linnya lye.