Isaiah 48:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mufulume Babiloni, badduke Abakaludeya; kino mukibuulire mu maloboozi ag'essanyu, mukirangirire, mukiraalaase okutuuka ku nsonda z'ensi; mugambe nti: “Omukama anunudde omuweereza we Yakobo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muve mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya. Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu. Mugalangirire wonna wonna n’okutuusa ku nkomerero y’ensi. Mugambe nti, “ Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mufulume mu Babbulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange, okutuusa ku nkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba; mwogere nti, “Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwanguwe muve e Babilooni, mudduke muve mu Bakaludaaya! Mukirangirire buli wantu nga muleekaana olw'essanyu, mukibunyise kituuke ensi yonna gy'ekoma. Mugambe nti: “Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mufulume mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange n'okutuusa enkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba: mwogere nti Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.