Isaiah 48:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaalumwa ku nnyonta bwe yali abayisa mu ddungu; yabakulukusiza amazzi okuva mu lwazi; yayasa olwazi amazzi ne gafumbukuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: yayasa olwazi amazzi ne gavaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu; yabakulukusiza amazzi agaava mu lwazi; era yayasa n'olwazi, amazzi ne gavaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yayisa abantu be mu malungu, tebaalumwa nnyonta. Yabakulukusiza amazzi agaava mu lwazi. Kale yayasa olwazi amazzi ne gafumbukuka omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu: yabakulukusiza amazzi mu lwazi: era yayasa n'olwazi, amazzi ne gatiiriika.