Isaiah 48:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebintu ebyayita nabirangirira dda, akamwa kange kaabiranga dda ne mbimanyisa; ate amangu ago ne nkolerawo, ne bituukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo; byava mu kamwa kange ne mbyogera. Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga; nabikola mangu ne bituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama oyo abagamba mmwe nti: “Okuva edda n'edda, nalangirira ebiribaawo. Nze Nzennyini, Nze nabiranga. Nabikola mangu, ne bituukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga: nabikola mangu ne bituukirira.