Isaiah 48:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebintu bino kyennava mbirangirira okuva edda, nabikubuulira nga tebinnatuuka, oleme kugamba nti: ‘Lubaale wange ye yabikola; ebifaananyi byange ebyole n'ebisaanuuse bye byabiragira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti, “Bakatonda bange be baabikola: Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nnakiranga gy'oli; olemenga okwogera nti, “Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava nnangirira edda ebiribatuukako gye bujja ne mbiranga mubimanye nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti: ‘Ebifaananyi bye tusinza: ebifaananyi ebyo ebyole n'ebiweese, bye biragidde ebintu ebyo bibeewo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nakiranga gy'oli: olemenga okwogera nti Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde.