Isaiah 48:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byakatondebwa kati, si bbanga ggwanvu emabega. Tobiwulirangako okuggyako olwa leero; awo nno toyinza kugamba nti: ‘Mazima nabimanya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbikola kaakano, so si ekiseera ekyayita: mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; era okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nali mbimanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaakabitondawo, si bya dda, era olwaleero lwe musoose okubiwulirako, sikulwa nga mugamba nti mwali mubimanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; eka okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nnali mbimanyi.