Isaiah 48:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Towulirangako, tomanyangako, okuva edda okutu kwo tekuggukanga; kubanga nali mmanyi bw'oli ow'enkwe, era ng'okuva lwe wazaalibwa oyitibwa mujeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Towulirangako wadde okutegeera. Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga. Kubanga namanya nti wali kyewaggula, okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Towuliranga wadde okutegeera, obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga; kubanga nnamanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa mujeemu okuva lwe wazaalibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo mwali temubiwulirangako, ddala mwali temubimanyanga era nga temubitegeranga matu, kubanga namanya nga temuli beesigwa, era ng'okuva lwe mwazaalibwa, mumanyiddwa bwe muli abajeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, towuliranga; weewaawo, tomanyanga; weewaawo, obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga: kubanga namanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa musobya okuva mu lubuto.