Isaiah 48:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera erinnya lyange nfuze obusungu bwange, olw'ekitiibwa kyange mbuziyizza okukutuukirira, nneme kukukutulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’erinnya lyange ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'erinnya lyange ndirwisaawo obusungu bwange, olw'ettendo lyange ndizibiikiriza, nneme okukuzikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olw'okukuuma ekitiibwa kyange, ndiziyiza obusungu bwange, era ndibagumiikiriza mmwe ne sibazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'erinnya lyange ndyosaawo obusungu bwange, n'olw'ettendo lyange ndizibiikiriza gy'oli nneme okukuzikiriza.