Isaiah 49:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe ebizinga, mumpulire, nammwe abantu abali ewala, mutegereze: Omukama yampita nga sinnazaalibwa, yampita erinnya lyange nga nkyali mu lubuto lwa nnyabo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumpulirize mmwe ebizinga, mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga agali ewala. Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulirize kye ŋŋamba, mmwe ebizinga, mutege amatu, mmwe amawanga, gye muli eyo ewala. Mukama yampita nga sinnazaalibwa, yampita erinnya nga nkyali mu lubuto lwa mmange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga, nga muyima wala: Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange: