Isaiah 49:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebalirumwa njala yadde ennyonta, empewo eyokya yadde enjuba tebiribakoonako, kubanga oyo abasaasira y'alibakulembera, alibatuusa ku nzizi z'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta; so n'ebbugumu teribakwatenga newakubadde omusana okubookya. kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaalumwenga njala wadde ennyonta. Omusana n'olubugumu tebiibakolenga kabi, kubanga Oyo abakwatirwa ekisa, alibakulembera, n'abatuusa ku nsulo z'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta; so n'olubugumu teruubakwatenga newakubadde omusana: kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga.