Isaiah 49:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yimba n'essanyu ggwe eggulu, naawe ensi jaganya; mmwe ensozi, musaakaanye ennyimba; kubanga Omukama akubagizza abantu be, era ajja kusaasira abanaku be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi; era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yimba, ggwe eggulu era sanyuka, ggwe ensi. Mubaguke muyimbe, mmwe ensozi, kubanga Mukama agumizza abantu be. Alikwatirwa ekisa ababe ababonyaabonyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi; era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa.