Isaiah 49:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukazi ayinza okwerabira omwana gw'ayonsa, oba obutasaasira mwana gwe yazaala? Ye nno yandiyinza okumwerabira, naye nze sigenda kukwerabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa, n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira naye nze sirikwerabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, n'atasaasira mwana wa nda ye? abo bayinza okwerabira, naye nze ssiikwerabirenga ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, n'atakwatirwa kisa omwana we gw'azaala? Weewaawo abakazi bayinza okwerabira abaana baabwe naye Nze siikwerabirenga ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe.