Isaiah 49:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanaakuzimba obuggya baabo banguwako, ate bo abaakuzikiriza ne bakuleka matongo bakuddukamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakuzimba basukkuluma abo abaakuzikiriza n'abaakuzisa balikuvaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo abalikuzimba obuggya banguwa okujja; abo abaakuzikiriza ne bakufuula amatongo, balikuvaamu ne bagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana bo baanguwa; abaakuzikiriza n'abaakuzisa balikuvaamu.