Isaiah 49:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situla amaaso ogeebunguluze olabe: bonna bakuŋŋaana, bajja gy'oli. Nze nga ndi mulamu,” Omukama y'agamba, “bonna ogenda kubambala ng'amajjolobera, olibeesiba ng'omugole bw'akola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli. Nga bwe ndi Katonda omulamu, balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe; abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo, n'obeesiba ng'omugole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yimusa amaaso go otunule ku njuyi zonna, olabe. Abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nze Mukama, nga bwe ndi omulamu, tolirema kubeeyagaliramu ne weenyumiriza ng'omugole ayambadde eby'obuyonjo ebiteŋŋeenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe: abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo, n'obeesiba ng'omugole.