Isaiah 49:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ebifulukwa byo n'amatongo go, n'ensi yo yonna yayonoonebwa, ojja kufunda olw'obungi bw'abalikusengamu, n'abo abaakuvunjaga balibeera wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa, kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo, era abo abakuteganya banaakubeeranga wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo n'ensi yo eyazikirizibwa, mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu, n'abo abaakulyanga baliba wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Weewaawo ensi yo yali ezise, ng'efuuse matongo, naye kaakano eriba nfunda etegyamu balijja kugibeeramu. Era abo abaaleka bakuzikirizza, balikwesamba ne babeera wala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo n'ensi yo eyazikirizibwa, mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu, n'abo abaakulyanga baliba wala.