Isaiah 49:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana abaazaalibwa ng'oli mu kufiirwa, balyogera mu matu go nti: “Ekifo kitufundiridde, twongere ekifo we tunaabeera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse lumu balyogera ng’owulira nti, ‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; tuwe ekifo aw’okubeera.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana abazaalibwa mu buwaŋŋanguse balyogerera mu matu go; nti, Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; mpa ekifo eky'okutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo abaazaalirwa mu buwaŋŋanguse balikugamba nti: ‘Ensi mwe tuli efunze nnyo, tuwe we tunaabeera.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ab'okufiirwa kwo balyogerera mu matu go nti Ekifo kinnyingiridde obufunda: mpa ebbanga ntuule.