Isaiah 49:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo oligamba mu mutima gwo nti: “Bano ani yabanzaalira? Saalina baana, nga ndi mugumba; nali muwaŋŋanguse nga nsuuliddwa, ate bano ani yaboola? Nayabulirwa ne nsigala bw'omu, ate kati bano bavudde wa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti, ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba. Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. Bano baava ludda wa? Nasigala nzekka, naye ate bano, baava wa?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olyoka oyogerera mu mutima gwo, nti Ani eyanzaalira bano, kubanga nnafiirwa abaana bange, era ndi omu, nnawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. ani eyazaala bano? Laba, n'asigala omu; bano baava ludda wa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'oyogerera mu mutima gwo, nti: ‘Ani yanzaalira bano bonna? Kubanga nafiirwa abaana, ne nsigalawo bwomu. Nali mu buwaŋŋanguse nga mbungeeta eno n'eri. Kale ani yakuza abaana bano? Ddala, nasigala bwomu, bano baali ludda wa?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olyoka oyogerera mu mutima gwo nti Ani eyanzaalira bano, kubanga nafiirwa abaana bange, era ndi omu, eyagobebwa, era abulubuutira eruuyi n'eruuyi? era ani eyalera bano? Laba, nasigala omu; bano, baali bali ludda wa?