Isaiah 49:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino Omukama Katonda ky'agamba: “Nzija kutemya ku mawanga, nzija kusitula akabonero kange eri abantu; balikuleetera batabani bo nga babawambaatidde, ate ne bawala bo nga babakongojja ku bibegabega byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero era ndiyimusiza abantu ebbendera yange: era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigololera amawanga omukono gwange, ne nsimbira abantu ebendera yange: awo balireeta batabani bo mu kifuba kyabwe, ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndiwenya ku b'amawanga n'omukono gwange, ne mbateerawo bbendera yange. Balireeta batabani bammwe nga babawambaatidde mu bifuba byabwe, ne bawala bammwe balikongojjerwa ku bibegabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)