Isaiah 49:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka bo baliba abakuza bo, ne bakyala baabwe abambejja be balikulera; balikuvunnamira nga beevuunise ku ttaka; balikomba enfuufu y'ebigere byo. Olwo nno olitegeera nti nze Mukama; abo abasuubira mu nze, tebagenda kuswazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire, ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa. Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi; balikomba enfuufu y’omu bigere byo. Olwo lw’olimanya nti nze Mukama, abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bakabaka baliba bakitaawo abalera, ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa; balikuvuunamira n'amaaso gaabwe, ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo; kale olimanya nga ndi Mukama, n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka balibalabirira mmwe nga bakitammwe, ne bannaabakyala baabwe ne babalabirira mmwe nga bannyammwe. Balivuunama mu maaso gammwe, ne babeetoowaliza nnyo, ne bakomba enfuufu eri wansi w'ebigere byammwe. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, era nga buli annindirira okumuyamba, talikwatibwa nsonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakabaka baliba bakitaawo abalera, ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa: balikuvuunamira n'amaaso gaabwe, ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo; kale olimanya nga ndi Mukama, n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi.