Isaiah 49:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama kino ky'agamba: “Mazima ddala abasibe baliggyibwa ku mutabaazi, n'omunyago gulinunulibwa ku mukambwe; ndirwanyisa abakulwanyisa, abaana bo ndibanunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’ati bw’ayogera Mukama: “N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe, n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo, kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe, era ndirokola mponye abaana bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo, n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa; kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe, era ndirokola abaana bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mukama agamba nti: “Ekyo kyennyini kye kigenda okubaawo. Ow'amaanyi be yawamba baliggyibwayo, n'abo abaanyagibwa ow'entiisa, baliteebwa. Ndilwanyisa oyo abalwanyisa mmwe era ndinunula abaana bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo, n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa: kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe, era ndirokola abaana bo.