Isaiah 49:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakuyigganya ndibaliisa ennyama yaabwe; balitamiira omusaayi gwabwe ng'abatamiira evviini ensu. Olwo abantu bonna balitegeera nti nze Mukama Omulokozi wo, Omumunuzi wo, Omuyinza wa Yakobo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo. Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini. Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo, Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo; era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu; n'abalina omubiri bonna balimanya nga nze Mukama omulokozi wo, era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakujoonyesa ggwe Siyooni, ndibaleetera okwetta bokka nga batamidde ettemu n'obusungu. Olwo abantu bonna balimanya nga Nze Mukama, Omulokozi, era Omununuzi wammwe, nga Nze Katonda ow'amaanyi owa Yakobo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo; era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu: n'abalina omubiri bonna balimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo, era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.