Isaiah 49:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ne ŋŋamba nti: “Nateganira bwereere; amaanyi gange nagoonoonera busa, omutaava kantu. Ssonga mu mazima, omugabo gwange guli mu Mukama, era empeera yange eri ne Katonda wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere, amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa. Kyokka ate Mukama yannamula, n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne njogera nti, “Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa, naye mazima omusango gwange guli ne Mukama, n'empeera yange eri ne Katonda wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze ne ŋŋamba nti: “Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa. Kyokka mazima Mukama ye amanyi ebyange, era Katonda wange ye alimpa empeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne njogera nti Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa, naye mazima omusango gwange guli ne Mukama, n'empeera yange eri ne Katonda wange.