Isaiah 49:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati Omukama ayogedde, oyo eyankola mu lubuto lwa nnyabo mbeere muweereza we, nzize Yakobo gy'ali ne Yisirayeli mmukuŋŋaanyize w'ali__ kubanga nafuna ekitiibwa mu maaso g'Omukama, ne Katonda wange y'abadde amaanyi gange__
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kaakano Mukama ayogera, oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we, okukomyawo Yakobo gy’ali era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali. Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano ayogera Mukama eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we, okumukomezaawo nate Yakobo n'okukuŋŋaanya Isiraeri gy'ali, kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange afuuse amaanyi gange:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano Mukama alina ky'agamba. Mukama oyo ye yammumbira mu lubuto lwa mmange n'antegeka okuba omuweereza we, mmukomezeewo ab'ezzadde lya Yakobo: be bantu be Abayisirayeli, abaasaasaanyizibwa. Anfuula waakitiibwa, era ye Katonda wange, ensibuko y'amaanyi gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano ayogera Mukama eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we, okumukomezaawo nate Yakobo era Isiraeri akuŋŋaanyizibwe gy'ali: (kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange afuuse amaanyi gange:)