Isaiah 49:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Kintu kitono gy'oli ggwe okubeera omuweereza wange, okuzzaawo ebika bya Yakobo, n'okubbula abaatalizibwa ba Yisirayeli. Ŋŋenda nno kukufuula kitangaala ky'amawanga, otuuse obulokozi bwange ku nkingi z'ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agamba nti, “Eky’okubeera omuweereza wange n’okuzza amawanga ga Yakobo era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo. Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
weewaawo, ayogera nti, “Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange okugolokosa ebika bya Yakobo n'okulokola abawonye ku Isiraeri; era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawanga, obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama oyo agamba nti: “Ggwe eky'okuba omuweereza wange okuzzaawo ekitiibwa ky'Ebika by'aba Yakobo, n'okukomyawo Abayisirayeli abawonyeewo, tekimala, naye era ndikufuula ekitangaala eri amawanga, nkukozese okununula ensi yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weewaawo, ayogera nti Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange okugolokosa ebika bya Yakobo n'okulokola abawonye ku Isiraeri: era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawaaga, obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi.