Isaiah 49:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wa Yisirayeli, Omutuukirivu we, eri oyo gwe baagaya, oyo amawanga gwe geetamwa, eri omuddu w'abafuzi: “Bakabaka baliraba ne basituka, n'abalangira baliraba ne bagwa wansi; olw'okubeera Omukama omwesigwa, Omutuukirivu wa Yisirayeli, eyakulonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga, eri omuweereza w’abafuzi nti, “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, oyo akulonze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wa Isiraeri, era Omutukuvu we, ng'agamba oyo abantu gwe banyooma, oyo eggwanga gwe likyawa, omuweereza w'abafuga, nti Bakabaka baliraba ne bagolokoka; abalangira baligolokoka ne basinza; ku lwa Mukama omwesigwa, Omutukuvu wa Isiraeri eyakulonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Omununuzi era Omutuukirivu wa Yisirayeli ayogera n'oyo abantu gwe banyooma, n'amawanga gwe gakyawa, era omuweereza w'abafuzi. Amugamba nti: “Bakabaka balikulaba ne bayimirira okukussaamu ekitiibwa, n'abakungu balikulaba ne bakuvuunamira, kubanga Mukama omwesigwa, era Omutuukirivu wa Yisirayeli ye yakulonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)